ENTANDIKWA/TUTANDIKE
Obuwaggizi
Bwoba weetaaga obuyambi oba oyagala okwogerezeganyamu n’abakozi ba Ayoba, tusaba ogende ku Ayoba.me/contact
Gya ku muttimbagano era otuuze
Nzijja ntya Ayoba kumutimbagano?
- Ayoba.me/download – (omuttimbagano ogwobwerere); oba
Osobola okukyalira Ayoba kukibanja kyaffe eky’okumutimbagano osobole okuggya enkola eno kumutimbagano ku budde bwonna, bw’oba oli mukozesa wa MTN ojja kusobola okuggya Ayoba kumutimbagano kubwereere, nga tokozesa mukutu gw’epuliziganya.
- Google Play store
Era osobola okuggya Ayoba kumutimbagano mu tterekero ly’enkola enzenjawulo erya Google Play Store. Ggulawo Play Store , onoonye Ayoba olyoke ogifune w’oba oli wa kukozesa Ayoba.
Nyongera ntya ku nkola empya ya Ayoba?
Osobola okwogera nkola empya mu Ayoba nga oyita kutterekero lyenkola za Google Play Store oba
Enkola Ya Ayoba ey’essimu za Android zokka y’eriwo (enkola y’emyaliiro emirala egya mu bwangu!). Okwogeramu enkola empya, genda ku tterekero ly’enkola ez’enjawulo erya Google Play Store, onyige kulukalala lw’ensegeka > Enkola ne Mizannyo gyo. Nyiga Ku OKULINYISA enkola kumpi ne Ayoba! Empeereza y’obubaka ey’amangu ey’obwerere.
Oba, genda mu Play Store onoonye Ayoba. Nyiga Okulinyisa enkola wansi wa Ayoba! Empereza ey’obubaka ey’amangu ey’obwerere.
Kukibanja kyo kumuttimbagano ekya Ayoba
Osobola era okulinyisa enkola yo eya Ayoba ku kibanja kyaffe eky’okumutimbagano, genda ku Ayoba.me/download
Nnyinza ntya okuddamu okutuuza Ayoba?
Okusobola okuddamu okutuuzako enkola ya Ayoba, weetaaga osooke ogisangule ku ssimu yo. Nga tonnakikola, sooka otereke emboozi zo. Nyinga eppeesa ly’olukalala lw’ensegeka, awo onyige ensengeka, awo onyige ku kubeezawo era olonde etterekero ly’emboozi zo.
Kino kijja kutereka emboozi zo n’obukuumi mu tterekero ery’okumutimbagano, era likukkirize okuzza ebyafaayo by’emboozi zo bwoba ozeetaaga. Kimanye nti etterekero teriri ku kyuma kyo kikalimagezi, era ojja kwetaaga okuyunga ku mutimbagano okusobola okukola etterekero lino.
Goberera ebiragiro bino osobole okusangula era n’okuddamu okutuuzaako Ayoba:
Okweloboza 1 :
- Kwata era onyige akafaananyi ka Ayoba ku lutimbe olusookerwako mpaka nga obufaananyi butandise okwenyenya
- Nyiga X munsonda ya kafaananyi ka Ayoba
- Nyiga Okusangula okusobola okuggyamu enkola eno n’ebiwandiike byayo
- Nyiga eppeesa ly’awaka w’otandikira
- Ddamu oggye Ayoba kumutimbagano mu tterekero Ly’enkola ez’enjawulo erya Google Play Store.
- Komyawo ebyafaayo by’emboozi zo nga onyiga eppeesa ly’olukalala, era olonde ensengeka, awo onyige okubeezawo era olondewo etterekero Ly’emboozi era olikomyewo.
- Era osobola okukyalira ekibanja kya Ayoba oggye kumutimbagano era oddemu okutuuza enkola eno ku budde bwonna. Bwoba oli mukoseza wa MTN osobola okuggya Ayoba kumutimbagano kubwerere*, nga tokozesa mukutu gwa mutimbagano.
*Mubudde obwokulinnyisibwa
Okweloboza 2:
- Kwata era onyige akafaananyi ka Ayoba ku lutimbe olusookerwako okasike era okasuule mu kikebe kyakasasiro/Ekikebe kigyemu
- Londa okuggyako okukakasa okusangula enkola n’obuwandike bwayo.
- Nyiga eppeesa awo w’otandikira
- Ddamu oggye Ayoba kumuttimbagano mu tterekero ly’enkola ezenjawulo erya Google Play Store.
- Komyawo ebyafaayo by’emboozi zo nga onyiga eppeesa ly’olukalala, era olonde ensengeka, awo onyige okubeezawo era olondewo etterekero ly’emboozi era olikomyewo.
- Era osobola okukyalira ekibanja kya Ayoba oggye kumutimbagano era oddemu okutuuza enkola eno ku budde bwonna. Bwoba oli mukoseza wa MTN osobola okuggya Ayoba kumutimbagano kubwereere*, nga tokozesezza mukutu gwa mutimbagano.
Mubudde obw’okulinnyisibwa.
Okukakasibwa
Nyinza ntya okukakasa enamba y’essimu yange?
Bwoba omaze okuggya enkola kumutimbagano, Giggulewo era ogoberere emitendera:
- Yingizaamu amannya go mu bujjuvu
- Londa ensi yo okuva ku lukalala. Kino kijja kujjuzaamu ennyukuta z’ensiyo ezennambayo ey’essimu.
- Yingizaamu ennambayo ey’essimu mu bbanga eryo wansi
- Nyinga okukakasa okusaba ennukuta
- Yingizaamu ennyukuta ey’enamba 6 gy’ofunye mu SMS
Saafunye nnyukuta ya namba 6 mu SMS
- Linda essaawa embalirizi okumala olyoke oddemu olonde okusindika SMS.
- Toteebereza nnyukuta, kubanga ojja kuggalirwa ebweru okumala akabanga. Eno nkola yabukuumi eziyinza olukusa lw’obutafunibwa muntu mulala yenna.
Singa embeera zino ziremerawo, Tusaba ogezeeko bino wansi:
- Tandika essimu yo buto (Okutandika essimu yo buto, giggyeeko, lindako obutikitiki 30 era ogizzeeko).
- Sangula era ozzeeko omutindo gwa Ayoba omupya.
Nsobola okukoseza Ayoba kubyuma bibiri bikarimagezi?
Olukusa lwa Ayoba yo lusobola okukakasibwa ne nnamba emu kukyuma kimu kikalimagezi. Bw’oba oyina essimu egendamu ennamba bbiri, tusaba okitegeere nti era olina okulondawo ennamba emu kuzo gy’onookakasa ne Ayoba. Tewali kweroboza kukusobozesa kubeera n’ennamba ebbiri.
Era Nneetaaga okuddamu okwewandisa singa enkola ngyijjako oba nengyizaako?
Nedda teweetaga. Kyona kyeweetaaga kyakuddamu kuwanula Ayoba okuva kutterekero ery’enkola ezenjjawulo erya Google Play Store oba okuva ku Ayoba.me/download. Yingizaamu Erinnya, Londa ensi yo okuva ku lukalala, Yingizaamu ennamba yo ey’essimu era olonde okukakasibwa.
Tegeera: Bwoba watereka ebyafaayo by’emboozi zo nga tonnasangula enkola eno n’okugizzaako, ebyafaayo bye mboozi yo bijja kukomezebwawo.